Proverbs 24

1 aTeweegombanga bakozi ba bibi
era tobeesemberezanga.
2 bKubanga emitima gyabwe giteesa kukola bya butemu,
era akamwa kaabwe koogera ku kukola bya ffujjo.

3 cAmagezi ge gazimba ennyumba,
n’okutegeera kwe kugiggumiza.
4 dOlw’amagezi ebisenge by’ayo bijjula ebintu ebirungi,
eby’obugagga ebitalabikalabika eby’omuwendo omungi.

5Omuntu ow’amagezi aba n’obuyinza,
n’omuntu alina okumanya yeeyongera amaanyi.
6 eKubanga okulwana olutalo weetaaga okuluŋŋamizibwa,
n’okuluwangula, weetaaga abawi b’amagezi bangi.

7Amagezi gasukkirira nnyo omusirusiru,
talina ky’asobola kwogera mu lukuŋŋaana olw’oku wankaaki.

8Oyo asala enkwe ez’okukola ebibi,
aliyitibwa mukujjukujju.
9Entegeka ez’obusirusiru muvaamu kwonoona,
abantu beetamwa omukudaazi.

10 fBw’oyongobera mu kiseera eky’ebizibu,
olwo ng’olina amaanyi matono!
11 gOdduukiriranga n’owonya abo abatwalibwa okuttibwa,
n’abo abali ku njegoyego z’okuttibwa, obawonye okuttirwa obwemage.
12 hBw’ogambanga nti, “Laba kino twali tetukimanyi,”
oyo akebera emitima aba talaba?
Oyo akuuma obulamu bwo takimanyi?
Talisasula buli muntu ng’omulimu gwe bwe guli?

13Mwana wange olyanga omubisi gw’enjuki kubanga mulungi,
omubisi oguva mu bisenge byagwo guwoomerera.
14 iEra manya nti amagezi gawoomera emmeeme yo,
bw’onoogafuna onoobeera n’essuubi mu bulamu obw’omu maaso,
n’essuubi lyo teririkoma.

15Toteeganga, ng’omunyazi bw’akola ku nnyumba y’omutuukirivu,
tonyaganga maka ge.
16 jOmuntu omutuukirivu ne bw’agwa emirundi omusanvu, addamu n’ayimuka,
naye abakozi b’ebibi basuulibwa mu mitawaana.

17 kTosanyukanga ng’omulabe wo agudde,
bwe yeesittalanga omutima gwo gulemenga okujaguza.
18Si kulwa nga Mukama akiraba ne kitamusanyusa,
n’amusunguwalira.

19 lTeweeraliikiriranga olw’abo abakola ebibi,
so abakozi b’ebibi tobakwatirwanga buggya.
20 mKubanga omuntu omubi talina ssuubi mu maaso,
ettabaaza y’abakozi b’ebibi erizikizibwa.

21 nMwana wange otyanga Mukama, ne kabaka,
era teweetabanga na bajeemu.
22Kubanga obusungu bwabwe bulibuubuukira ku bajeemu
era ani amaanyi akabi akalibatuukako?

Ebigambo Eby’amagezi

23 oBino nabyo era bigambo by’abalina amagezi.
Okwekubiira ng’osala emisango si kirungi.
24 pKale oyo agamba azizza omusango nti, “Toliiko ky’ovunaanibwa,”
abantu banaamukolimiranga, n’amawanga ganaamwetamwanga.
25Naye abo abasalira omusobya omusango ne gumusinga banaabanga n’essanyu,
n’omukisa omulungi gulibatuukako.

26Eky’okuddamu eky’amazima,
kiri ng’okunywegerwa.

27Malirizanga omulimu gwo ogw’ebweru,
oteeketeeke ennimiro zo,
n’oluvannyuma olyoke weezimbire ennyumba yo.

28 qTowanga bujulizi bwa bulimba ku muliraanwa wo,
so akamwa ko tekalimbanga.
29 rToyogeranga nti, “Omuntu oyo ndimukola nga bw’ankoze,
era ndimusasuza nga bw’ampisizza.”

30 sNayita ku nnimiro ey’omugayaavu,
ne mpita ne ku nnimiro y’emizabbibu ey’oyo atalina kutegeera.
31Kale laba, ng’ennimiro eyo ebunye amaggwa,
wansi wonna nga wabikkiddwa omuddo,
n’olukomera lwayo olw’amayinja nga lugudde.
32Ne neekaliriza ne ntegeera
ne nfuna ekyokuyiga mu bye nalaba.
33 tOtulo otutonotono, n’okusumagira akatono,
n’okufunya emikono okuwummulako,
34 uobwavu bulikutuukako ng’omutemu,
era n’obwetaavu ng’omutemu.
Copyright information for LugEEEE